Amawulire

Gavumenti esse omukago ne UNFPA

Gavumenti esse omukago ne UNFPA

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Gavumenti esse eomukago nabekitongole kya United Nations Population Fund (UNFPA), okukola ku nsonga nebizbu ebivaako abaana abatanetuuka okufuna embuto.

Wabaddewo ensisinkano wakati wa minisita omubeezi owekikula kyabantu, avunayizbwa ku byobuwangwa Peace Mutuuzo nakulira UNFPA mu Uganda Suzanne Mandong.

Bakanyizza okwetaba mu nteseganya nabakulembeze aba wggulu abakwtaibwako ensonga, okuvaayo nenkola ezinayitwamu okulwanyisa obutabanguko mu maka, abaana okufuna embuto ku myaka emito nebizbu ebirala.

Wabaddewo okweyongera kwembuto mu baana abato mu Uganda, naddala mu kiseera ekyomuggalo gwa ssenyiga omukambwe okusinziira ku alipoota ezenjawulo.

Alipoota ya poliisi ekwataku bumenyi bwamateeka eya 2020 yalaga ni abaana omutwalo 1 mu 4,230 bebasobezebwako nayenga kisubirwa nti ebibalo birir waggulu nokusingawo.

Minisita Peace Mutuuzo, nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti ye Bunyangabu yagambye nti yakoze okunonyereza mu kitundu kye, mu bbanga ettono eriyise nazuula ngabaana 3,000 bebafuna embuto mu magombolola agenjawulo agakola disitulikiti.