Amawulire

Eddagala erigema covid-19 emitwalo 6 mu 7000 ligenda kugwako nga terikozeseddwa

Eddagala erigema covid-19 emitwalo 6 mu 7000 ligenda kugwako nga terikozeseddwa

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Benjamin Jumbe

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni alabudde akugoba ba ababaka be abakiika mu disitulikiti ezenjawulo ba RDC, abakulira emirimu ba CAO neba DHO abatwala ebyobulamu, mu bitundu eddagala gyerinagwako nga terikozeseddwa.

Okulabula kuno Museveni yakukoledde mu kwogera kwe eri egwanga ku mbeera yekirwadde kya ssenyiga omukambwe, nga yagambye nti eddagala doozi emitwalo 6 mu 7,000 lyolekedde okugwako omwezi guno.

Wano yalagidde abakulembeze mu bitundu ebyanjawulo okukunga abantu bajjumbire okugemebwa.

Okusinziira ku Museveni, eddagala doozi obukadde 2 nemitwalo 30 weriri ku National Medical stores atenda doozi obukadde 12 million lisubirwa ku nkomerero yomwaka guno.

Gavumenti egamba nti balubiridde okugema abantu obukadde 4 nemitwalo 80 omwezi gwa Decemba wegunatukira.

Awamu abantu obukadde 21 nemitwalo 90 bebalubiridde okugema mu gwanga lyonna.

Mungeri yeemu, Ssabalabirizi wekanisa ya Uganda, Dr Stephen Kazimba Mugalu atenederezza omukulembeze wegwanga ku kyeyakoze okuggulawo amasinzizo.

Mu kwogera kwe, olunnaku lweggulo Museveni yalagidde amasinzizo gaggulewo, wabulanga abantu tebasukka 200.

Dr Kazimba agambye nti ngabamu bakyasaba omuwendo gwongerweko abakulembeze mu makanisa basaanye kwongera ku muwendo gwa savisi zebasaba.

Abasabye era bagoberera ebiragiro byokwetangira ssenyiga omukambwe nga bwebalagiddwa.

Kinajjukirwa nti pulezidenti Museveni yalabudde ku kusaba nemu budde bwa kafyu.