Amawulire

Ababaka Ssegirinya ne Ssewanyana basabye okweyimirirwa

Ababaka Ssegirinya ne Ssewanyana basabye okweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

September 14th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Omulamuzi wa kooti enkulu e Masaka Victoria Nakintu Katamba ataddewo olunnaku olwanga 20 omwezi guno, okuwuliriza okusaba okwatereddwayo a Puliida b’omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya n’owa Makindye West Allan Ssewanyana okweyimirirwa.

Bano baakwatibwa ku bigambibwa nti beenyigira mu kutta abantu 3 e Masaka ku kyalo Ssenya ne Ssetaala mu gombolola ya Kimaanya-Kabonera mu Kibuga Masaka.

Oludda oluwaabi lwategeeza nga kuno bwekwaliko Taddeo Kiyimba, Kizza Francis Nswa ne Suleiman Kakooza atenga bagezaako nokutta Ronald Ssebyato nga bino byaliwo nga 23 August womwaka guno.

Puliida okuva mu ba Lukwago and company advocates Baker Ssekanjako ensonga 5 zeyawadde mu kusaba okweyimirirwa, Ababaka bano agambye nti balina endwadde ezitabaganya kubeera mu kkomera, bantu baabuvunaanyizibwa abalina okuweereza abantu babwe, omusango tegunabasinga nga nabwekityo ssemateeka abawa eddembe okweyimirirwa n’endala.