Skip to content Skip to footer

Abasubuzi abatonotono bagenda kuweebwa obuwumbi 200

Bya Ndhaye Moses

Gavumenti esabye abaddukanya business entonotono, okwetondamu ebibiina nga minisitule yebyensimbi etekateeka okufulumya obuwumbi 200 gyebali.

Omukulembeze wegwanga Yoweri K Museveni yalagira minisitule okuwagira aba business entonotono nensimbi zino, okweddabulula  oluvanyuma lwokukosebwa ennyi ssenyiga omukambwe, nekigendererwa okuzukusa era ebyenfuna.

Kati minisita webyensimbi Matia Kasaijja agambye nti batekeddwa okwetekateeka

Akulembera ekibiina ekigatta aba business entonotono wwansi wa Federation of Small and Medium-sized Enterprises nga ye John Walugembe alina essuubi nti ssente zino zigenda kuyamba nnti abasubuzi okwedabulula.

Leave a comment

0.0/5