Bya BBC
Minisitule yebyobusubuzi mu gwanga lya Burundi baweze kasooli nobuwunga bwa kasooli, ebiva mu mawanga amalala, okumala ebbanga lya myezi 6, nga kino bagamba nti kyatandise nga 8 March.
Mu kiwandiiko ekivudde mu minisitule eno, bagambye nti bazudde nga kasooli asinga ava aebweru we gwanga mubi eri obulamu bwabantu.
Wabula tebalaze mawanga ki gano, agawereddwa obutayingiza kasooli e Burundi.
Bino webijidde nga Kenya yagobye kasooli ava wano e Uganda ne Tanzania, nga balumiriza nti mukyafu era alaimu obutwa.
Kati omuwandiisi owenakalakkalira mu ministule yebyobusubuzi e Burundi, Jeremie Banigwaninzigo agambye nti kikoledwa, okulaba nti kasooli balairwana gwebagaanye ate tayingira waabwe.
Yyo gavumenti ya Uganda, olwaleero essubirwa okwanukula palamenti mu butongole ku nsonga ya Kasooli abe Kenya gwebagobye.