Skip to content Skip to footer

Omwana owemyaka 4 afudde mungeri eyebyewuunyo

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi mu distulikiti ye Zombo etandise okunonyereza, kungeri omwana owemyaka 4 gyeatiddwamu.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya West Nile, Josephine Angucia agambye nti omugenzi ye Lajua Afoyorwoth, ngabadde muwala wa Shamim Ozele owemyaka 30 omutuuze ku kyalo Awangkwa mu tawuni kanso ye Padea e Zombo.

Kigambibwa nti omukyala ono, yalese abaana babiri nga bebase, wabula yegenze okukomawo awaka ngomu yafudde dda avaamu n’omusaayi mu mattu nemu nnyindo.

Wabula mu musango gwaloopye ku poliisi alumiriza omusajja, eyamukwana nagana, okubakao kyamanyi ku nfa ayomwana ono.

Leave a comment

0.0/5