Skip to content Skip to footer

Gwebakubye emisumaali bagenda kumujja e Mulago

Bya Benjamin Jumbe

Ab’ekiina kya NRM basazeewo okujja omuwagizi waabwe mu ddwaliro e Mulago gwebakomeredde emisumaali mu mikono, bamutwale mu ddwaliro eddala wanabeera obuylungi.

Baker Kasumba omutuuze we Kawempe kigabibwa nti yalumbiddwa abasajja 2 nebamukuba, nga bamulanga okwambala akakofiira ka NRM akabaddeko ekifanayi kya ssentebbe wekibiina Yoweri K. Museveni.

Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba atauseeko mu ddwaliro e Mulago ono gyajanjabirwa.

Kati omwogezi wa NRM Rogers Mulindwa agambye nti basazeewo okumujja mu ddwaliro e Mulago, kulw’ensonga zebyokwerinda.

Leave a comment

0.0/5