Skip to content Skip to footer

Omu China akukusa abaana abuze-Poliisi emuwenja

Chinese defiler

Poliisi ku muyiggo gw’omusajja enzaalwa ya China lwakukusa baana

Yang Zhengun n’omulala ategerekese nga Faith Orlando baggulwaako emisango gy’okukusa abaana kyokka nga kati emirundi 2 nga tebalabikako.

Ababiri bano baakukusa abaana babiri nga kuno kuliko omwana ow’emyaka 9 ne 13 okuva e Gulu okubatuusa mu Kampala okubakubisa obwa maalaya.

Amyuka omwogezi wa Poliisi Patrick Onyango asabye omuntu yenna amulabyeeko oba okufuna amawulire agamukwatako okutegeeza poliisi mu bwangu ddala

Ennamba z’okukubako zili 0711778256, 041-232359,041-4230448

Leave a comment

0.0/5