Amawulire

Omusumba aluyiseeko

Ali Mivule

February 18th, 2013

No comments

_zac_niringiye_932105592Omusumba Zac Niringiye akkiriziddwa okugenda ku lugendo lwe.

Kiddiridde okuleeta paasipoota ye ne tikiti eraga nti abadde alina okugenda mu ggwanga lya Italy ku lunaku lw’okusatu.

Niringiye alabiseeko mu maaso g’amyuka akulira ba mbebga ba poliisi e Wandegeya Simon Asaba

Ono avunaanibwa kukuma mu bantu muliro n’okufulumya ebitali b ituufu mu katabo keyagaba eri abantu.

Bino byonna byekuusa ku kampeyini emanyiddwa nga Black Monday abalwanyisa enguzi mwebayita okwambala ebuddugavu mu kulaga enguzi enzikiza gy’ereese mu ggwanga