Amawulire

NRM yeesomye ku Nebanda

Ali Mivule

February 12th, 2013

No comments

untitledAb’ekibiina kya NRM baanirizza ebyavudde mu kulonda kwe Butalejja .

Bano bagamba nti basanyufu nti yadde abavuganya baboogeredde ebigambo bingi, omuntu waabwe yasobodde okuwagula

Omwogezi w’ekibiina kino Mary karooro Okurut asuubizza ng’ekibiina kya NRM bwekitagenda kuyiwa bantu be Butalejja

Nebanda yawangudde n’obululu 27,388 nga yaddiddwaako Betty Hamba eyafunye obululu 12,150 votes.

Mu ky’okusatu owa FDC Felistus Namuhiriri n’obululu 3,393, Sarah Logose n’addako mu ky’okuna n’obululu 3, 252 votes, ate Perusi Munaaba n’afuna obululu 1,332.

Okulonda kuno kwaddirira okuva kw’omubaka Cerina Nebanda mu Mwaka oguwedde

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *