Amawulire

Ekimotoka ky’omwenge kigudde

Ali Mivule

February 21st, 2013

No comments

beer truck

Poliisi erwanaganye nabatuuze be Kyakatebe ku luguudo lwe Mubende, abakedde okubba omwenge okuva ku ki loole ekyagudde mu kifo kino enkya ya leero.

Loole eno ebadde eva Mityana ku depot ya bbiya wa Nile, nga etwala kuleeti za bbiya ezisuka mu 2000 e Mubende ne mu byalo ebye njawulo.

Wabula e Kyakatebe ze mayiro nga abiri okutuuka e Mubende wekonedde ente olwo neremerera dereva wayo, bwetyo negwa.

Yadde nga poliisi egezezaako okusaawo abaserikale okuuma abantu baleme kunywa mwenge guno kyokka nokutuusa kati abantu abasoose okubbako bakyali mu kifo awagudde akabenje nga batamidde dda.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *