Olwali

Omwana omuto akedde okukwana

Ali Mivule

December 1st, 2014

No comments

young boy

Edda abaana nga balwaawo okutandika eby’ekikulu.

Ssi bweguli ennaku zino , mu ggwanga lya America, omwana ow’emyaka ena awandiise ebbaluwa ng’asuuta akawala bwebasoma era eno erese bangi nga bawunikiridde.

Maama w’omwana ono Jennifer skinner, y’assizza ebbaluwa eno ku mukutu gwa yintaneti mu kwewunya kyokka wetwogerera ng’ekutte bangi omubabiro

Mu bbaluwa eno, akaana kano katenderezza kaako okuba akalungi okukira embalaasi  era n’akasaba kamukyalire balya cheese

Akaana kano kagamba nti laavu gyekalina eri kanaako, akakuula amannyo.

Katusiibire nti kamanyi kyekogerako