Olwali

Omwana azadde mwana munne

Ali Mivule

October 2nd, 2013

No comments

Pregnant baby

Abasawo mu ggwanga lya China batunudde nebasamaalira oluvanyuma ow’okukizuula ntu omwana omulenzi owemyaka 2 abadde lubuto lwa mwana.

Omwana ono bamulongoosezza okumujjamu ekintu ekyefananyirizaako omwana yenyini

Ekintu kino nno kibadde kinywedde omwana ono ng’alinga eyalwaala entumbi nga yenna amyuukiride akabuto.

Abasawo bagamba nti omwana ono ng’akyaali mu lubuto lwanyini yali alina okuzaalibwa ne mulongo munne wabula n’akulira muyye era mw’ekyo yadde yazaalibwa, ekyana kiri kyasigala kikula

Ekyaana ekimulongoseddwaamu kubadde n’omugongo, embiriizi engalo kko n’ebigere

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *