Olwali

Omukyala ono tasaaga

Ali Mivule

September 10th, 2013

No comments

woman keeps body

Mu bakyala ate mulimu abakazi.

Mu ggwanga lya Georgia ,omukazi ow’emyaka 40 akuumye omulambo gwa mutabani we okumala emyaka 18 nga gukyaliwo.

Oluvanyuma lwa Joni Bakaradze  okufa ku myaka 22,  maama we yasalawo akuume omubiri gwe kubanga mukyala we yali lubuto kale ng’ayagala muzzukulu we alabe nga kitaawe bweyali afanana.

Ono agamba akozesa mwenge omuka okukuuma omulambo gw’omugenzi nga gukyaliwo.