Olwali

Mmotoka ya Mario Balotelli eyogeza abawagizi obwama

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

Balotelli's car

MANCHESTER
Kibeera kizibu oli okuvuga mmotoka ya bukadde 540 (£130,000) n’ekitakola mawulire oba abantu ne batagyegomba. Bw’atyo mwana mulenzi Mario Balotelli owa Man City yabadde agenzeeko ku ‘shoppingi’ kyokka yagenze okufuluma edduuka ng’abawagizi beebulunguludde mmotokaye ekika kya Bentley GT nga bagyekubizaako ebifaananyi.

Anti kyangu okumanya mmotoka eno kubanga Balotelli yagikyusa langi n’agisiiga ebifaanana eby’amagye, era buli muntu agiraba ategeererawo nti Balotelli ali mu katundu.

Omuzannyi aweze egyobukulu 22, ajja kusaala bangi abawagizi be mu kubuga kya Manchester anti buli wabadde alaga nga bamwettanira.

Obufo obusanyukirwamu nabwo bujja kugwa akatale anti abadde abuteekamu kaasi ng’akyakala ne mikwano gye. Ekibuga Manchester kyafiiriddwa esswagga lya Balotelli naye ate Milan bo baganyuddwaamu kuba olwatuuse abawagizi yasanze bamulinze era Poliisi ye yalwanye nabo okubatangira obutakola ffujjo.

Okumwaniriza kumpi katono kumenyewo okwa Ronaldinho enzaalwa ya Brazil eyeegatta ku kiraabu eno ng’ava mu Barcelona eya Spain mu mwaka gwa 2008.