Olwali

Lindsey Vonn yeegaanye eby’okuganza Tiger Woods

rmuyimba

February 5th, 2013

No comments

LONDON

(Ggofu)

Kirabika Tiger Woods akyalina okubeera ku katebe ng’akyalinda olunaku lw’aliddamu okufuna omwagalwa.

Wabaddewo ebibadde by’ogerwa nti Tiger ali mu mukwano ne Lindsey Vonn avuga obugaali bw’omumuzira, naye omwogezi wa Vonn avuddeyo n’abiwakanya ng’agamba nti bakoma ku kya kuwayaamu kyokka.

Tiger ne Vonn baalabwako mu April ku mukolo Tiger gwe yali ategekedde abaana b’alabirira, kyokka Vonn agattako nti kino tekirina kye kitegeeza kubanga baamukwano.

Naye kirabika bakyalina omukisa kubanga bombi tebalina baagalwa okuva Lindsey lwe yayawukana ne Thomas Vonn ate Tiger n’ayawukana ne Elin Nordegren.