Olwali

Alangidde mukama we

Ali Mivule

September 30th, 2013

No comments

woman sings

Buli muntu aliko engeri gy’ava ku mulimu gwe ng’agukooye.

Omuwala ow’emyaka 25 Marina Shifrin, abadde akooye mukama we okumutuntuza nga ky’akoze kwekuyiiya akayimba ng’ono akunganyizza bakozi banne ne mukama we ng’abasuubiza okubaleeterayo akapya.

Atandise kuyimba akayimba kano wakati mu kuttottola nga bw’abadde akooye mukama we okumutuntuza era abatandise nga bamukubira mu ngalo bonna bibaweddeko nabasigala nga basamaaliridde.