Ebyobusuubuzi

Okuteesa kwetagisa ku byenfuna

Okuteesa kwetagisa ku byenfuna

Ivan Ssenabulya

January 28th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omulanga gukubiddwa akulira ekitongole kya SEATIN Uganda Jane Nalunga, omukugu mu byobusubuzi bwabadde ayogerera mu kukubaganya ebirowoozo, okwategekeddwa okukwata ku mbalirira ye gwanga.

Agambye nti kimalamu amaanyi, okulaba nti okusinga ebyenfuna bye gwanga biri mu mikono gyabagwira, ngensimbi bazitikka bazitwala waabwe.

Kati agambye nti obwetaavu webuli okuteesa na buli akwatibwako ensonga, okukaanya kungeri ebyenfuna bye gwnaga gyebigwanidde okukwatibwamu.