Ebyobusuubuzi

Okulongosa ekibugga kye`Mukono

Okulongosa ekibugga kye`Mukono

Bernard Kateregga

September 1st, 2015

No comments

File Photo: Ekibuuga kye`Mukono

File Photo: Ekibuuga kye`Mukono

Abakwasisa amateeka mu kibugga Mukono bakoze ekikwekweto mwebayoledde ebintu byabasubuzi abasangiddwa ku mabbali ge kkubo.
Batandikidde mu kabuga ke Wantoni okuyita mu masekatti ga Mukono ppaka e Seeta.
Bayodde ebipande ebibaddewo mu bukyamu nga tebisasula musolo, emmeeza zabatunda Chapati naba ttoninyira, abobusimu nabalala bakoseddwa mu
kikwekweto kino.

Ebintu byonna ebiboyeddwa kati bikumibwa ku kitebbe
kya Munisipaali ye Mukono.
Abasubuzi balajanye nti tebarabuddwa, babazindukirizza nga
tebamanyi saako nokubakwata obubi.
Bakubidde abakulembeze omulanga nti babaddize ebyabwe olwo bave ku nguudo babeeko awalala webayiyiza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *