Ebyobusuubuzi

NSSF egaanye okugaba ssente zabakozi

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2020

No comments

Bya Juluiet Nalwooga

Ekitavvu kyabakozi ekya National Social Security Fund kivuddeyo okutegeeza nti tebalina teeka mwebayinza kusinziira okuwa ba memba ssente zaabwe, zebabadde baterekera obukadde.

Kino kidiridde amaloboozi okuva mu bantu abenjawulo nti ba memba batandike okubawa ku ssente zaabwe, oolwembeera eriwo olwekirwadde kya Corona.

Kati okusinziira ku kiwandiiko ekivudde ewa ssnekulu wekitavvu kya NSSF Dr. Richard Byarugaba, agambye nti kino tekisoboka.