Ebyobusuubuzi

New Palm k’ekasimu akappya akatono era ak’omulembe akategenda kukujuliriza.

rmuyimba

March 7th, 2019

No comments

Ojjukira akuuma kebayita Palm Pilot? Bwoba tojjukira nkakasa bazadde bo bakimanyi obanga baali bakawuliddeko.

Kale kankujjukize nti mu mwaka 1997 waaliwo kampuni gy’ebayita Palm Company.

Kampuni eno yaleeta PDA eyagulawo ekkubo, eri okujja kwa smartphones oba amasimu kika kya sereeza, wabula yagwawo mu 2011, naye kati ekomyewo ku mayengo.

Kati osobola okuzannya emizannyo gyo gy’osinga okwagala okuyita ku mutimbagano gwa yintaneti ku Palm Pilot, ku kibanja Bet9ja promotion code.

Mu Novemba w’omwaka guno kamapuni emu mu kibuga San Francisco yatandika okugula layisinsi okuva ku TCL.

Kati bagenze mu maaso nebaleeta kyebavumbudde era kyebatuumye “baby phone” ekigenda okudibya ebisimu ebiriwo kati ebinene, nga iPhone XS Max.

Wabula waddenga kayinza obutajirawo ddala ssimu yo enenne, naye kagenda kugonza obulamu.

Kati kiteberezeemu okugenda mu giimu okukajjuza, ng’olina akasimu akatono era akaja mu nsawo y’empale yo bulungi, yinchi nga 3.3, kale tewetaaga kweralikirira ku kyakuleka bulamu bwe obwa digito emabage ona ewaka.

Biki ebiri ku ssimu eno oba endabika yaayo?

Ekintu ekisokera ddala ekisikiriza amaaso go, ye sayizi ye ssimu. Kati ntebereeza nti yensonga lwaki bajituuma “minimalist smartphone” oba akasimu akatoni ennyo.

Sikuliini yaayo ya yinchi 3.3 nga ntono n’okusinga iPhone eyasooka ku katale emabega.

Mu byonna essimu eno esobbola okuja mu kibatu kyo, kyebava bajiyita palm ekivvunulwa nti ekibatu.

Ekyewunyisa essimu eno ezitowa gulaamuzi 62 nekitundu, ngoyinza n’okwerabira nti olina essimu mu nsawo yo.

Ekirala kwekuba nti Palm phone ya Android 8.1 ngerina apu zonna mu Google Play store.

Essimu eno baajikola okukwanguyiza nokunyumisa obulamu obulamu, okugeza osobola okukoona ku ppeesa lya kamera emirundi ebiri nojijjako.

Osobola okukoona ku ppeesa lya virtual home nekuzaayo ku sikuliini ate n’olikonako emirundi 2 nekuzaayo ku home.

Wabula mu ndabika yaayo, ssi ssimu yamaanyi.

Erina 445 ppi LCD nga kino tekimala okulaga byonna byoba ojikozesa.

Obutono bwe ssimu eno buyinza okukulemesa okulaba ebintu ebyotera okulaba ku ssimu eza bulijjo, okugeza erina USB pooti emu, tewali wagenda headphone.

Kamera eyefananyirizaako XS: kamera ya serefi ne kamera eyabulijjo atenga ne megapixels ssi nnungi nnyo.

Kamera erina megapixels 12 ezisobola okukuba ebifananyi ebirungi, atenga eya serefi erina megapixels 8.

Eryanda lya 800Amh nga teriyinza kukuuma muliro okumala ebbanga eddene, ngebbanga ly’ojikozesa libeera ttono.

Wabula okucagiinga tekutwala bbanga ddene, nge’jjula mu kaseera mpaawo kaaga, mu ssaawa ngeemu.

Kampuni eno era yagenze mu maaso newabula engeri gy’oyinza okukuumamu eryanda lyo, nga tipusi zino ziri mu seetingisi.

Kati essimu eno egula $349, kati tubuliire kyolowooza.