Ebyobusuubuzi

Muyambe bakyala bannabwe

Muyambe bakyala bannabwe

Ivan Ssenabulya

April 1st, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssentebbe w’olukiiko lwabakyala mu gwanga asabye abakyala okuviira ddala ku byalo, okuwagiranga banaabwe, okufuna ku ssente za gavumenti mu ntekateeka ezenjawulo.

Farida Kiboowa agamba nti abakyala bangi mu byalo abatalina kyebamanyi, nayenga ate waliwo era abaliko kyebamanyi abasobola okuyambako ku banaabwe kungeri gyebasabamu ssente za gavumenti nebirala.

Wano era agambye nti nabakulembeze babakyala bavunayzibwa kinene nnyo, okuyamba banaabwe obutasigalira mabega.