Ebyobusuubuzi

Minista waakusisinkana abasubula seminti leero.

Ivan Ssenabulya

April 10th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa.

Olunaku olwaleero minister akola ku by’obusubuzi  omukyala Amelia Kyambadde akakasizza nga bwagenda okuwayaamu n’abasubula, ko n’okukola seminti  mu gwanga bamutegeeze ekiviirideko ebeeyi okwewanika.

Minister ono okuvaayo kyandiridde abantu okwekubira enduulu nga bagamba nti ebeeyi ya seminti  erinye ebitagambika.

Minister gy’ebuvudeko yatubuulira nti kirabika waliwo abasubuzi ba seminti  abamukweka, kale nga alina okubasisinkana , ensonga zino bazogereko

Mukaseera kano seminti ali wakati w’e mitwalo 40,000 – 50, 000, kyoka nga omwezi oguwedde nga gutandika yali ku 29,000.