Ebyobusuubuzi

Minisita alangiridde sizoni y’okusiga

Ivan Ssenabulya

March 17th, 2020

No comments

File Photo: Sempijja nga yogeera

Bya Ivan Ssenabulya

Ministry yebyobulimi, obuvubi nobulunzi esabye abalimi batadike okwetegekera sizoni eyokusiga, wakai wa March ne May.

Omulanga guno gukubiddwa minisita webyobulimi Vincent B. Ssempijja wwabula wakati mu katyabaga kenzige, ezalumba district za 24 mu bitundu okuli Teso, Lango, Bugisu, Karamoja, Acholi ne Sebei.

Bwabadde ayogera ne banamwulire Media Centre mu Kampala, minisita agambye nti akatyabaga kenzige kabali mu taano, era tezijja kukosa mirimu gyabalimi.

Asabye abalimi okubeera agenderza, nga bagula ensigo okwewala enjigirire, bazijje mu batunda eddaala lyebirime bokka abakakasibwa, ministry, songa basobola nokweyambisa abalimisa.

Kinajjukirwa nti abekitongole kyenteberza yobudde nga 10 mu mwezi gwokubiri, balagula nti enkuba yakutonna ouva mu March okutukira ddala May ne June.