Ebyobusuubuzi

Gavumenti yaakuleeta amateeka ku mata

Gavumenti yaakuleeta amateeka ku mata

Ivan Ssenabulya

January 28th, 2020

No comments

Bya Malikh Fahad

Minisita omubeezi owebyobulimi Lt Col Rdt Bright Rwamirama alangiridde nga gavumenti, bwegenda okuleeta amateeka amakakali ku basubuzi abatunda amata amafu.

Rwamirama agambye nti baazudde nti embeera eno, ekosa emirimu gyebyobusubuzi, nga waliwo abateeka amazzi nebiragala mu mata.

Bino webijidde ngamata ga Uganda gagobeddwa mu gwanga lya Kenya, olwomutindo omubi.

Kinajjukirwa nti Kenya eriko tonne zamata 54 zebabowa ezaali zibalirirwamu emitwalo gya $ 36.