Ebyobusuubuzi

Gavumenti ezze n’obukodyo okulwanyisa abatasasula musolo

Gavumenti ezze n’obukodyo okulwanyisa abatasasula musolo

Ivan Ssenabulya

November 27th, 2019

No comments

Bya Ndaye Moses

Gavumenti eri mu ntekateeka okupangisa abakugu okuva ebweru we gwanga, okwekenneyanga ebintu byabanna-Uganda okuzuula abo abebalama okuwa omusolo.

Kino kibikuddwa minister webyensimbi Matia Kasaija bwabadde ayogerera mu musomo gwebyenfuna ogwa NTV economic summit ogwomulundi ogwokuna, ogugeda mu maaos ku Serena mu Kampala.

Agambye nti wabadde watera okuberawo okubalirira okukyamu, ekivirako gavumenti okufiirwa obutafuna musolo gwonna okuva mu bantu.

Agambye nti mu kino era bajja kumalawo nembeera eyebintu ebimu okukulakulana ennyo, atenga ebiralala biri mabega nnyo mu nkulakulana.