Ebyobusuubuzi

Ebbanja lya Uganda ligenze likula

Ebbanja lya Uganda ligenze likula

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2019

No comments

Bya Kyeyune Moses

Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alaze okutya olwe bbanja lye gwanga erigenda likula buli kadde.

Spiika okwogera bino abadde ayogeraamu ne ssbabaalirizi webitabo bya gavumenti John Muwanga ku alipoota zeyakola eza June 2018, ezal;ag anti ebbanja lya Uganda likuze okuva ku 22% nga bwebwesedde 33 nomusobyo ensimbi eza silingi nga bwegwali nga 30th June 2017 okudda ku bwesedde 41 bwezatukira 30th June 2018.

Mu era yalaga nti amabanja obwesedde nga 3 ebbanga gavumenti mweyalambikira okusasula, lyolekedde okugwako mu 2020 nga kyetagisa nga 65% ku musolo ogusolozebwa okusasula ebbanja lino mu myaka egyebyensimbi 2 egiddako, wabula kyagamba nti kizbu.

Wano Spiika Kadaga awabudde nti ekyamangu kyetagisa okukolebwa, egwanga okwedabulula okuva mu mabanja.

Kadaga era assubizza ssababalirizi webitabo bya gavumenti, nti bakukola kawefube ebitabo bye nabyo okutunulwamu nokubyekebejja.