Ebyobusuubuzi

Bannayuganda bakyagaanye okwesiga banka mu uganda.

Bannayuganda bakyagaanye okwesiga banka mu uganda.

Ivan Ssenabulya

December 18th, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba

Okunonyereza okwakolebwa mu Alipoota eya Finscop Uganda omwaka guno kwalaga nga bannayuganda ebitundu 11% bokka bwebatereka ensimbi zaabwe mu banka ez’enjawulo eziri mu gwanga , wabula nga abagenda mu banka zino okwewolawo bakola ebitundu 3% bokka.

Kati kino kireseewo okwebuza nadala kunsonga lwaki bannayuganda bangi beekeka eby’okukozesa banka zino , songa buli kasera zeyongera, nga kwogasse n’okuteekawo amatabi gaazo mubuli kanyomero ka ggwanga.

Twogedeko n’amyuka akulira banka enkulu eye gwanga Luis Kasekende naagamba nti banka ezimu zikyesibye wano mu Kampala, ,songa eno mu bayalo weewali banekolera gyange abandyetaze  banka zino

Wibrod Owor  nga ono yaakulira Uganda banker Association agamba nti okutuusa enkola za banka mubuli kanyomero ka gwanga, y’ensonga lwaki baaleta enkola ya Agency banking , songa company z’amasimu nazo zirina ba agent abasuka mu 11,000.

Kati twogedeko ne banna-uganda abenjawulo nga twagala okumanya lwaki banka  bazebalama .

Abamu kubano bagamba nti banka zeetagisa ebiwandiiko bingi, songa nokujjyo ensimbi kitwala akadde kawanvu, bbo kyebatayinza kugumikiriza.

 

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *