Ebyobusuubuzi

Amelia alabudde aba LDU abakuba abasubuzi

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2020

No comments

File Photo : Amelia nga yogera

Bya Damalie Mukhaye

Minisita webyobusubuzi amakolero n’obwegassi Amelia Kyabadde ayambalidde aba LDU era nabalagira bakomye okukuba abasubuzi embooko ngebyoku ttale.

Olwaleero aba LDC balabiddwako nga bakuba abasubuzi mu Kampala, ekiwalirizza nabamaduuka okugagala nga berimbika mu kussa mu nkola ekiragiro kyomukulembeze we gwanga.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku Media Center mu Kampala, Amelia Kyambadde agambye nti kino kibadde tekyetagisa kubanga omukulembeze we gwanga teyalagiddeko kuggala maduuka.

Kinajjukirwa nti omukulembeze we gwanga yalagidde amaduuka gakole nobutale, wabulanga eno yagobyeyo abasubuzi abantu ebintu ebiralala ebitali byakulya.

Mungeri yeemu agambye nti gavumenti egenda kuddamu nokwekennenya ebbeyi yebintu okukakasa nti abantu babulijjo tebabbibwa mu mbeera eno.