Ebyobusuubuzi

Abe Masaka bayigga zakukyaaza bachina

Ali Mivule

May 18th, 2015

No comments

masaka headquarter

Disitulikiti mu bitundu bya Greater Masaka biyigga obukadde 80 okukyaaza bamusiga nsimbi aba China mu kitundu kyabwe.

 

Ssentebe wa disitulikiti ye Masaka  Joseph Kalungi agamba betaaga ensimbi zino okutegeka olukungaana olugenda okwetabwamu abakulembeze okuva mu disitulikiti 8.

 

Kalungi agamba disitulikiti ye y’awaddeyo dda hectares 259 ku kyalo Mazigo mu gombolola ye Bukakata eri bamusiga nsimbi abagenda okuteekawo ekibangirizi kyabannamakolero.

Bamusiga nsimbi bano basuubirwa mu ggwanga nga 27 May nga era basuubirwa n’okwetaba mu mwoleso gw’ebyobulimi ogugenda okutegekebwa e Kamenyamigo mu masaka.