Ebyobusuubuzi

Abasubuzi beetaga kooti enaakola ku misango gy’omulago gwa East Afriica.

Abasubuzi beetaga kooti enaakola ku misango gy’omulago gwa East Afriica.

Ivan Ssenabulya

September 17th, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba.

Abasubuzi ba Uganda basabye abakulembeze mu Mawanga ga East Africa okutondawo kooti ey’enjawulo enamalangawo enkayana  singa wabaawo eggwanga linamukago erigaana okuteeka munkola amateeka agalina okugobererwa naddala mu byensubulagana.

Bino webigidde nga abasubuzi bangi  abava mu Uganda bakaaba olw’obukwakulizo obubatekebwako amawanga agamu, kyoka nga bukontana nendagaano ezatekebwako wansi w’omukago.

Twogedeko ne ssentebe w’ekibiina ekitaba abasubuzi ekya KACITA nga ono ye Everest Kayondo natubuulira nti mukaseera kano abasubuzi tebalina webayinza kudukira okufuna obwenkanya, kale nga abasinga batuuse n’okuduka mu businesi  oluvanyuma lw’okufiirwa ensimbi zaabwe.

Kati ono ayagala abakulembeze b’amawanga gano , eno ensonga bagitunulemu mu bwangu.