Ebyobusuubuzi

Abasubuzi b’amatooke e Mbarara balajana

Abasubuzi b’amatooke e Mbarara balajana

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye

Abasubuzi bamatoke abagagya mu bitundu bye Mbarara basobeddwa eka ne mukibira oluvanyuma olw’ebbeeyi yaago okulinya.

Bano bagamba nti ekisinze okulinyisa ebeeyi yamatooke ye nkuba eyakuba ensuku zaabwe gye buvuddeko nga kati gaakendera mu bitundu bye Mbarara ne Isingiro

Abasubuzi bategezeza nti ebbeeyi y’emmere ebadde eli wansiko nga ettooke eddene libadde ku 7000 ate ettono libadde ligula wakati we 5000 ne 4000 ekitakyasoboka kati.

Wabula bano bekokodde abasubuzi abangi abatwala amatooke e kampala nga bbo bagenda okutuusa agaabwe nga bayina ku gateeka ku bbeeyi ya wansi okusobola okugamalawo ng’ate babeera bagasubulidde ku beeyi.

Omumyuka wa Ssentebe wa katale k’omu kikoona  awatuukira amatooke  Haji Sudi Sselugo ye agamba nti amatooke sigegokka agarinye ebbeeyi wabula ebintu omuli bbogoya, ndiizi, n’obummonde nabyo biri waggulu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *