Ebyobusuubuzi

Abalimi ba vanilla basomeseddwa ku ky’okukuuma omutindo.

Ivan Ssenabulya

May 29th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya.

Abalimi ba Vanilla wano e mukono basabiddwa okufaayo ku nsonga y’omutindo naddala nga beewaala okukungula akyali omuto.

Kuno okulabula kukoleddwa akulira ekibiina ekya UVAN Ltd  Aga Ssekalala Jr, nga ono okwogera bino abadde asisinkanye  a bantu be Kimennyedde wano e mukono.

Ono agamba nti okwagala ensimbi ezamangu kufiirizza uganda akatale , kale nga kino abalimi bagwana okukikomya