Ebyobusuubuzi

Abakozi ba MTN bawenjebwa lwa kubba mobile money

Abakozi ba MTN bawenjebwa lwa kubba mobile money

Ali Mivule

August 27th, 2014

No comments

Simcard

Sim card

Kooti eragidde abakozi ba kampuni ya MTN 2 bakwatibwa lwakunyaga ensimbi z’abantu obukadde 2.3 okuva kumukutu gwa mobile money.

Muhammed Kajubi ne Alex Munyambabazi era bavunaniddwa okugala emikutu gya Mobile money mu bukyamu ngabayambibwako banabwe okuli Denis Kagabo, Rogers Maliga  ne Atim Harriet a omuyizi mu ntendekero lye Makerere.

Kigambibwa wakati wa November 2012 ne December omwaka oguwedde bano bakyankalanya ebyuma bikalimagezi n’ebanyaga ensmbi okuva ku bantu 6.

Omulamuzi w’eddala erisooka  mu kooti ya city hall  Elias Kakooza eragidde poliisi okukwata abasajja bano obutasuka nga 10 omwezi ogujja.

Wabula ye Atim omusango agukiriza era nasindikibwa e Luzira okumala emwezi 18.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *