Ebyobusuubuzi

Abaana bagobeddwa mu katale

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abasuubuzi mu katale ka Kame valley market mu munisipaali ye Mukono balajanidde gavumenti ebalowozeeko mu mbeera eno, kubanga batubidde mu mabanja ga banka.

Bagamba nti pulezidenti agwaanye ayimirize banka okubanja nebannayini mayumba, olwokatyabaga ka corona kubanga tebakyakola.

Nantamu Regina agamba nti alina omudaala gwamukene n’obutungulu, atenga alina nakabaala kabaddi yatandikawo wabula yakoseddwa wonna olwebiragiro byomukulembeze we gwanga.

Nantamu agamba nti, alina abaana musanvu baalabirira kyokka nga abadde yabasindika mu bisulo afune akadde okubategekera ebiddako nokusasula amabanja geyeewola nti kyokka kati atubidde nga nekyokuliisa abaana awamma kiwamme.

Ate Nassuuna Irene nga naye musuubuzi atugambye nti tebakyalaba ku baguzi, era bakeera kutuula.

Omumyuka wa ssentebe mu katale kano Kigozi Robert yye agambye nti tebalina kyakukola bagenda kussa mu nkola ebiragiro nokuwabula kwomukulembeze we gwanga naye betaaga obuyambi.

Ate abakulembeze mu katale ka Kame Valley akamanyiddwa ngakomu Kikko e Mukono bagobye abaana abato obutadda mu katale.

Kati mu bubaka obuyisiddwa ku kizndaalo mu katale, abakulu balabudde nti singa abazadde banajeema nebaleeta abaana mu katale baakukangavvulwa.

Tracy Kabagenyi omu ku bakulembeze mu katale kano, agambye nti kino bakikoze ngeemu kun kola eyokutangira corona obutasasaana.

Wabula abamu ku basubuzi bali mu bulumi, nti embeera eno egenda kubanyigiriza nnyo.