Ebyobusuubuzi

Aba URA bakutte ssigala owamagendo

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abawooza aba Uganda Revenue Authority baliko ssigala awerako gwebaboye okuva mu store meu e Kisaasi, nga kigambibwa nti babaddenga bamukukusa okuva ku mulirwano mu gwanga lya Kenya, okumuyingiza kuno nga tassudde musolo.

Omumyuka wa Commissioner akwasisa amateeka mu URA Agnes Nabwire agambye nti bano babadde bafirizza egwanga omusolo gwa buwumbi 2, gwebepena okuwa.

Abantu 3 abakulembeddwamu Yeko Francis bebakwatiddwa nga kigambibwa nti bebali emabega wobusubuzi bwamagendo buno, nga bakutte ne mmotoka kika kya premio 2 zebabaddenga bakozesa okusabaza ssigala ono.

Abakwate bagenda kuvunanibw kujingirira biwandiiko na kutambuza byamaguzi ebitawadde musolo.

URA egamba nti omusolo gwa bwumbi 74 zezajibwa mu ssigala yekka mu gwanga mu mwaka gwa 2017.