Ebyobusuubuzi

Aba MTN bajjeewo omusolo

Ivan Ssenabulya

March 18th, 2020

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ab’omukutu gwa MTN Uganda okutandika n’olunnaku Lwokuna nga 19 March, 2020 bajeewo omusolo ku mobile money, eri abakola obusubuzi obuli wansi wemitwalo 3.

Kino kigenda kukola kubasindika nokujjayo ssente ku MTN ku MTN, nga kijidde mu budde bwokwerinda ekirwadde kya Corona.

Ssenkulu wa MTN Uganda Win Vanhellepute agambye nti kino kigenda kukola okumala ennaku 30, ngagambye nti okusalwo bwebati basoose kwebuuza ku bonna abkwtibwako ensonga naddala banka ye gwanga enkulu.

Bino webijidde nga nabomukutu gwa Safaricom mu Kenya, bajeewo ebisale ku M-Pesa ku ssente wansi wemitwalo 3 mu 6,000.