Ebyobulamu

Uganda ewezezza Omusaayi ogumala.

Uganda ewezezza Omusaayi ogumala.

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Ekitongole ekikola ku by’okugaba ko n’okutereka omusaayi ekya Uganda blood bank kitegezeza nga amalwaliro agategeeza abalwadde nti tegalina musaayi bwegalimba, kubanga kakano omusaayi gwebalina gusobola okudukirira buli agwetaga.

Bwabadde ayogerera mukugaba omusaayi wano ku Kampala international school Uganda, Joan Odyek okuva mu kitongole kino agambye nti mukaseera kano Uganda erina omusaayi ogumala, kale nga amalwaliro agalimba abantu nti tewali musaayi bandiba nga baagala kubabba.

Ono agambye nti Uganda yakosebwamu n’ebbula ly’omusaayi omwaka oguwedde naddala nga abaana bagenze muluwumula,kale bwebakomawo omusaayi neguwera era tewali atoma.