Ebyobulamu

Siriimu anafuya omubiri

Siriimu anafuya omubiri

Ali Mivule

February 3rd, 2016

No comments

File Photo : Abalwadde mu dwaliro

File Photo : Abalwadde mu dwaliro

Abakugu mu bulwadde bwa mukenenya bakizudde nti eddagala eriweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya linafuya omuntu n’aba ng’akwatibwa mangu endwadde.

Omukugu mu kunonyereza ku ndwadde ezibuna amangu, Dr. Damali Nakanjako agamba nti bekenenyezza abantu abatandika ku ddagala mu mwaka gwa 2008 wegwatuukidde mu mwaka gwa 2015 ng’emibiri gyaabwe ginafuye.

Dr.Nakanjako asabye abantu bulijjo okugenda amangu mu ddwaliro bakeberebwe nga bukyaali okusobola okussibwa ku ddagala nga tebannaba kunafuwa

Mu ngeri yeemu,

Omumyuka wa Katikkiro asooka, Amb. Emmanuel Ssendaula akubirizza abavubuka okwewala obulwadde bwa mukenenya kisobozesse okutuusa omulamwa  gwa Kabaka ogwokuteeka Buganda kuntiiko.

Ambassador Ssendaula bino abyogeredde Mengo bwasisinkanye abaami nabazaana ba Ssabasajja  okuva mu Gombolola ya Ssabaddu Kira mu nkola yo Luwala Lwaffe eyatongozebwa gyebuvuddeko eyokuwaayo okusobola okuddukanya emirimu gya Ssabasajja.

Banno baguzze  certificate za bukadde musanvu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *