Ebyobulamu

Siriimu akwata mangu nga yakakwata omuntu

Ali Mivule

November 20th, 2013

No comments

HIV victims

Kizuuliddwa nti omuntu aba yakafuna obulwadde bwa mukenenya aba asinga mangu omulala ssinga wabaawo okwegatta

Ab’akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya  bagamba nti akaseera kano kabulabe nnyo

Omusawo okuva mu kakiiko kano, Dr Vinand Natulyaagamba nti mu ssabiiti 3 oba nnya, omuntu nga yakafuna obulwadde buno buba butambula nnyo.

Prof Natulya agamba nti mu kino kiva ku mubiri okuba nga munafu ate ng’akawuka kano kaba kapya nga kakyalina amaanyi.