Ebyobulamu

RDC alabudde amadiini agawakanya okugema

RDC alabudde amadiini agawakanya okugema

Ivan Ssenabulya

October 15th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Buli kimu kijiddwako engalo, okutandika okugema abaana okwekikungo, ebirwadde okuli polio, Olukusense ne Rubella.

Mu ntekateeka eno gavumenti erubiridde abaana obukadde 18 nga 43% ku bantu abali mu gwanga, okuva olunnaku lwenkya nga 16 okutukira ddala ku lunnaku lwa Sunda ngennakuz omwezi 2 Octoba.

Minisita webyobulamu Dr Jane Acheng, agambye nti kino kikoleddwa okwetangira ebirwadde bino, ngobulwadde buno lwebwasemba okubalukawo bwali mu district za Uganda 60.

Agambye nti Polio mugongobaza kakyali katyabaga kamaanyi eri egwanga, kubanga kyewanise amatanga ku muliraano mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo nemu South Sudan.

Entekateeka eno egenda kuwementa obukadde bwa $ 18 ngewagiddwa gavumenti ya Uganda, neminywanyi gyayo okuli Global Alliance for Vaccines, World Health Organization ne UNICEF.

Mungeri yeemu omubaka wa gavumenti mu district ye Mukono alabudde abagotanya entekateeka z’okugema nga berimbika mu ddiini.

Omumyuka wa RDC Richard Bwabye alAbudde nti bagenda kusindika abasirikaale baabwe mu bifo ebye’njawulo okukwata bonna abanagaana okugema abaana baabwe.