Ebyobulamu

Omwana bamulongoosezza ku bwongo

Ali Mivule

October 7th, 2013

No comments

baby operated

Abazadde bangi bazaala abaana nga tebamanyi nti baliko obukyaamu bwonna

Embeera yeemu eri omukyala Nicole eyazaala mutabani we ng’alaba mulamu awatali buzibu bwonna

Wabula omwana ono gyeyajja akula bakizuula nti yali akozesa oludda lumu okukola emirimu

Omwana ono bamutwala mu ddwaliro okwekebejjebwa kyokka era tewali kirabika

Omwana ono bayongera okumwekebejja era okukizuula nga yasanyalala ko ekyuuyi olw’obulwadde bw’ensimbi obwaali bumutawaanya.

Ono abasawo basalawo aloongosebwe ku bwongo

Bazadde be abatuuze mu kibuga newYork basooka kugaana olw’ensonga nti tewali Muntu yali alongoseddwa ku bwongo n’adda engulu kyokka nga kati babuuka oluvanyuma lw’omwana waabwe okudda engulu.

Omwana ono ow’omwaka ogumu akyalabirirwa bazadde be n’abasawo okulaba nti atereera ddala era ng’ayingidde mu bitabo byebyafaayo ng’asoose okulongoosebwa ku bwongo n’adda engulu mu ggwanga lya America

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *