Ebyobulamu

Omusujja gwenkaka guli Moyo ne Buliisa

Omusujja gwenkaka guli Moyo ne Buliisa

Ivan Ssenabulya

January 24th, 2020

No comments

Bya Ndhaye Moses

Ministry yebyobulamu ekakasizza okubalukawo kwekirwadde kyomusujja gwenkaka mu district ye Moyo ne Buliisa, ngabantu 3 bebakafa.

Bwabadde ayogera ne banamwulire wani nabekitongole kyebyobulamu mu nsi yonna ku kitebbe kya ministry, minisita webyobulamu Jane Ruth Acheng agambye nti abantu 4 bebakakaksibwa okubeera enkirwadde kino.

Abantu 2 baafiridde Moyo nga kitegezeddwa nti babadde basubuzi ba mbaawo, abanawula ekirwadde kino okuva mu South Sudan.

Omuntu omulalal yafiridde Buliisa nga nay yabadde musubuzi wamata, ngakolera mu gwanga lya DR Congo.

Kati minisita agambye nti basimndise ekibinja kyabakugu mu district zino 2 okutandika okugema abantu.

Yye ssenkulu wa WHO Dr. Tedros Adhanom agambye nti bagenda kuwgaira gavumenti, mu ntekateeka eno eyokugema.