Ebyobulamu

Kizuuse nga abantu abafa omuka omukyamu gwebasika beeyongedde.

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2018

No comments

Ssebuliba samuel

Waliwo okunonyereza okukoleddwa ekitongole ekikola ku by’obulamu  munsi yonna nekizuuka nga kubuli bantu 10  mu nsi yonna, abantu  9 basika ebikaka ebikyamu ebiyinza n’okukosa obulamu bwabwe.

Alipoota eno ekizudde nga abantu obukadde  musanvu  bebafa buli mwaka okwetoloola ensi yonna nga bino biva ku mukka guno.

Dr Tedros Adhanom  nga ono y’akulira  ekibiina kino  ekya world health organization agamba nti abantu  obukadde  busatu   bebafa  omukka guno naddala oguva mu stove, amasigiri nebirara, songa abalala  obukadde 4.2 bafa lwamukka oguva mu makolero, emotoka nebirara.

Wabula kino kizuuse nga ku bantu abakosebwa omukka guno, ebitundu 90%  bali musemazinga ezikyakula  gamba nga Asia ne  Africa