Ebyobulamu

Govumenti tenasalawo ku ky’okuleeta abasawo okuva mu Cuba.

Ivan Ssenabulya

April 30th, 2018

No comments

Bya Ndaye Moses.

Ministry ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bwetanakola kusalawo okw’onkomeredde ku kyokuleeta abasawo okuva mu Cuba bajje bakole mu uganda.

Bwabadde ayogerako ne banamawulire, Dr. Diana Atwine  nga  ono ye muwandiisi ow’enkalakalira mu ministry eno agambye nti government mu kaseera kano ekyakubaganya  ebirwozo ku kiteeso kino, kale nga akadde konna okusalawo kwakukolebwa era banansi baakumanyisibwe.

Ono agamba nti  government okusalawo bweti kyadirira abasawo abakyasoma okutegeza nga bwebatalina bakugu ababalaga eky’okukola, kale government kwekulowooza ku ky’okuleeta abakugu okuva mu cuba bayambe abaana bano

Ono agamba nti singa government enaasalawo okuleeta abasawo  bano, bagenda kuteekebwa mu malwaliro 36  ewali abaana bano abakyayiga, batandike okubatendeka, sosi kujanjaba bantu nga bwebibadde ebigambibwa.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *