Ebyobulamu

Eyabadde ataberezebwa e Masaka ssi mulwadde

Ivan Ssenabulya

March 19th, 2020

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Sampozi ezajiddwa ku mulwadde we Masaka, eyabadde ateberezebwa okubeera nekirwadde kya COVID-19, olunnaku lwe ggulo kizuuse nti ssi mulwadde.

Omusajja ono nga dereva wa mmotoka okuva kuno okugenda e Rwanda, yeyetutte mu ddwaliro nokutya nti yandiba omulwadde kubanga e Rwanda obulwadde buno bwakakasibwayo.

Bamwawulidde mu ddwaliro ekkulu e Masaka, era nebamujjako sampo abakugu zebekebejezza nekizuuka nti ssi mulwadde.

Kati akulira eddwaliro lye Masaka Dr. Stuart Musisi, agambye nti mulamu waddenga yabadde n’obubonero.

Kino era kyongedde okukakaksibwa nti mu Uganda temunabaamu mulwadde wa corona yenna.