Ebyobulamu

Ekyuma kya kookolo kitongozeddwa.

Ivan Ssenabulya

January 19th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

Ekyuma ekikalirira kookolo kimaze okutongozebwa wano e Mulago, nga kino kirudde ebanga nga kirindiriirwa.

Bwabadde eyogerera mu kotongoza ekyuma kino,ssabaminister wa uganda Dr Ruhakana Rugunda agambye nti kino kigenda kukendeeza ku nsimbi ezibadde zigendera mu banayuganda abatwalibwa e bunayira okujanjabibwa.

Ono agambye nti buli mwaka uganda ebadde efiirwa ensimbi ezitagambika mu kutwala abantu bano e bunayira okufuna obujanjabi, wabula kavuna uganda efunye ekyuma nga kino bino byonna bikomye

Kumukolo gwegumu ne Dr Jane Ruth- Acheng nga ono ye minister akola by’obulamu agambye nti bukyanga kyuma kino kiggwa okukolebwako nga 4th Dec kyakakola ku bantu 120

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *