Ebyobulamu

Ekirwadde kya Cholera kizzemu

Ekirwadde kya Cholera kizzemu

Bernard Kateregga

March 10th, 2016

No comments

Ekirwadde kya Cholera kizzemu okubalukawo mu disitulikiti ye Sironko nga tewanayita namyezi 2 nga kyekiggye kigoye abeeno.

File Photo: Omulwadde wa kolera

File Photo: Omulwadde wa kolera

Kati abantu 3 bebakaweebwa ebitanda mu malwaliro agenjawulo.

 

Ku ntandikwa y’omwaka guno cholera yazingako ebitundu bye Mbale ne Sironko nga era yatta abantu 10 n’abalala nebaweebwa ebitanda.

 

Omubaka wa pulezidenti e  Sironko Moses Wamoto Kigayi  agamba abalwadde bonna bava Budadiri nga babaddusizza mu ddwaliro oluvanyuma lw’okufuna obubonero bwa Cholera.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *