Ebyobulamu

Eddwaliro lyetaaga okusumusa

Ivan Ssenabulya

November 21st, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ssentebe w’olukiiko olukulembera eddwaliro lya Buntaba HCII Kagayi Matovu asabye gavumenti okubakwasizaako okuzimbira abasawo amayumba.

Eno agambye nti abasawo batambula engendo mpaanvu, okuva gyebasula okutuuka ku malwaliro.

Eddwaliro lino lisangibwa mu gomboloa ye Kyampisi mu district ye Mukono.

Wabula ssentebe w’eggomboloola ye Kyampiisi Ibrahim Kabambwe wamu nakulira eddwaliro lino Mariam Nakirijja basabye gavumenti okulowooza ku kyokusumusa eddwaliro lino okutuuka ku mutendera gwa HCIII, lwebanasobola okufuna byonna byebetaaga.