Ebyobulamu
Eby’okuwera abafuuweta sigala mu bantu bikyagaanye.
Bya Damali Mukhaye.
Ekitongole ekya KCCA kitegeezeza nga bwekitanateeka munkola kaweefube w’okulwabyisa abafuuweta sigala mulujudde nga bwebaali baasubiza
Twogedeko n’amyuka ayogerera ekitongole kino Robert Kalumba naagamba nti enkola eno tenatandika kutekebwa munkola, wabula nga singa kino kitandika abafuweta sigala baakukajutuka.
Muteeka lino singa omuntu akwatibwa nganga afuuwet sigala mukifo ekikyamu asibira mu komera, oba okuwa engasi, kale nga olina okulonda ekkifo ekyesudde mita 30 okuva awali abantu.